Ebikozesebwa mu kulonda byatuusiddwa mu bifo eby’enjawulo ewagenda okulonderwa akalulu k’okujjuza ekifo kya Ssentebe wa Disitulikiti y’e Hoima era weziweredde ssaawa 1 eyookumakya ga leero ng’okulonda kutandise mu bitundu ebisinga obungi. Okusinziira ku Kakiiko k’ebyokulonda aketengeredde aka Independent Electoral Commission Uganda, okulonda kugenda kukomekerezebwa ku ssaawa 10 ez’olweggulo.
Ebikozesebwa mu kulonda byatuusiddwa dda e Hoima
