Ebiku ebiri mu kkomera ly’e Kamuli biruma nga ebirina Sponsor – Bigirwa

Moses Bigirwa nga ono y’amyuka Ssentebe wa Uganda Young Democrats mu Buvanjuba bwa Uganda olunaku olwaleero atonedde ekkomera ly’e Kamuli ebbomba wamu n’eddagala eritta ebiku wamu n’ebiwuka ebirala ebiri mu mubudukulu.
Bigirwa agamba lweyasibwa olw’okwekalakaasa nga awakanya omusolo ku Mobile Money ne Social Media mu kkomera lino okumala enaku 10 ebiku byamuluma ebitagambika era teyafuna ku mpeke yatulo yadde. Bw’abadde awaayo ebintu agambye nti abadde atuukiriza bweyamo bweyawa abasibe.

Leave a Reply