Omwogezi wa Uganda Police Force Fred Enanga avuddeyo nategeeza nti oluvannyuma lw’ekirwadde kya #COVID-19 okweyubula nga kati kikambwe nnyo nga bwekiri mu Buyindi, nti kati ebitongole byebyokwerinda nga biri wamu bigenda kuddamu okuteekesa ebiragiro byokulwanyisa ekirwadde kino mu nkola nga ne curfew kwomutadde.
Enanga agamba nti balagidde abaduumizi ba Poliisi mu bitundu eby’enjawulo okuddamu okunyweza ebikwekweto naddala mu curfew wamu n’ebiragiro ebirala ebyateekebwawo, nabwekityo entambula zonna ezitali zamugaso wakati wa ssaawa ssatu ez’ekiro okutuusa ku ssaawa kumineemu n’ekitundu ez’okumakya tezikirizibwa nga kino kijja kuyamba okukendeeza ku nsisinkana y’abantu mu kiro.
Poliisi egamba nti era kyakuyamba okukwata abamenyi b’amateeka ababadde basitudde enkuudi.
Poliisi egamba nti egenda kukwata abo bonna abali mu mabbaala agatagulwanga, ebifo ebisanyukirwamu wamu n’enkungaana ezisussa mu bantu 200, ab’ebidduka abatikka abantu abasukka mu bitundu 70 okugeza; takisi, bbaasi n’emotoka ezabuyonjo. Abasaabaze nabavuzi ba booda booda abasussa mu ssaawa kuminabbiri nabo bakukwatibwa.