Ebiragiro ebyateekebwa ku bintu ebiwerako enaku zaweddeko

Enaku 42 ezomuggalo Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni zeyateekawo nga ziwera ebintu ebimu zaggwako ku lwakutaano lwa wiiki ewedde nekiraga bangi nga bebuuza ku kiki ekiddako kukugondera ebiragiro bino.
Pulezidenti Museveni bweyali ayogerako eri eggwanga nga 30 July yawera ebyemizannyo okubeeramu abawagizi, ebibanda byokusiba emupiira, sineema, theatre, ebivvulu nga bino byali byakwetegerezebwa oluvannyuma lw’enaku 42, wabula bangi bebuuza kiki ekiddako kuba Pulezidenti tanavvaayo kuwa biragiro biggya.
Wabula Dr Monica Musenero, yavuddeyo nategeeza nti ebiragiro ebyateekebwawo bikyagenda mu maaso nga tewali kikyuuseemu nti era ebitaggulwawo byali byakutunulwamu oluvannyuma lw’enaku 60.
Leave a Reply