Ebitongole by’ebyokwerinda bitandise omuyiggo gw’abatemu abakubye Abiriga n’omukuumi we amasasi

Ebitongole eby’enjawulo ebivunaanyizibwa ku by’okwerinda mu ggwanga bikwatidde wamu eddimu ly’okunoonyereza ku batemu abakubye omubaka Abiriga saako n’omukuumi we Butele amasasi agabatiddewo.

Omwogezi wa Poliisi Emilian Kayimba yagambye nti okusinziira ku byakazulibwawo kiraga nti abatemu bakozeseza emmundu ekika kya AK-47. Agamba nti okusinziira ku bisosonkole by’amasasi ebyazuuliddwa mukifo awakoleddwa obutemu biraga nti amasasi gavudde mu mmundu ekika kya AK-47

“A couple of cartridges for an SMG assault rifle popularly known as AK 47 have been recovered at the scene of crime”.
Ye akulira CMI ‘Chieftaincy of Military Intelligence’, Brig Abel Kandiho, yagaanye okubaako kyayogera wabula bweyabuuziddwa ku ki CMI kyegenda okukola yagambye nti teyetaaga kujjukiza kungeri gyalina okukolamu emirimu gye.

Ye omwogezi wa UPDF Brig Richard Karemire, okutta Abiriga n’omukuumi we kikolwa kyabutitiizi, nti era bakivumirira nga bakukolera wamu n’ebitongole ebirala ebivunanyizibwa ku by’okwerinda mu ggwanga.

Leave a Reply