Ebiyumba by’eggaali y’omukka ebyagulibwa tebisobola kukola ku nguudo za Uganda

Managing Director wa Uganda Railways Corporation Mw. Stanley Ssendegeya yategeezezza akakiiko ka COSASE nga ebiyumba ebipya eby’eggaali y’omukka ebyakagulwa mu September 2021 okuva e South Africa bwebitanakozesebwa olwokuba bizito nnyo ku nguudo zeggaali y’omukka ezimu zetulina.
Ebiyumba bino byagulwa okuva mu Grindrod Kkampuni ya South Africa ku buwumbi 48 nga birina obusobozi bwokuwangaala emyaka 40.
Ssaabawandiisi wa Uganda Railways Corporation Workers Union Mw. Victor Byemaro ategeezezza Ababaka nti ebiyumba bino tebisobola ku bitundu by’enguudo ezimu nga ‘junctions’ ezimanyiddwa nga ‘triangles’.
Ono agamba nti babireeta mu Yuganda nga tebategedde nti biwanvu nnyo okuyita ku ‘traingles’ nti olwokuba okuva e Nairobi byajja bitunudde eno e Yuganda nga kati birina okukyuuka bitunule gyebyava.
Ye Pulezidenti wa Union James Oketch agamba nti tekinologiya n’enguudo zetulina nkadde nnyo kw’ebyo Yuganda byerina.
Leave a Reply