Okunoonyereza kwa Police mu byogerwa nti Rev .Fr. Kibuuka Jacinto yazaala mu muwala Nantongo kulaze nti byonna bijingirire era Fr. asibwako matu ga mbuzi kumuliisa ngo .
Nantongo amazze ebbanga dddene ng’atadde Fr. Kibuuka mu mawulire nti omwana gw’alina wuwe .
Ng’ayogerako mu lukungaana lwa bannamawulire ku CPS mu Kampala Afande Fred Enanga agamba oluvannyuma lw’okukola okunoonyereza okumala , obujulizi bwonna obuleeteddwa ku Fr. Kibuuka bujingirire .
Wabula kati Police egamba nti egenda kuvunaana Nantongo olw’okugiwa amawulire amakyamu .
Afande Enanga agamba nti balina amawulire nti abali emabega w’okwonoona erinnya lya Fr. Kibuuka basooka kumusaba ssente bweyagaana okuzibawa, ensonga nebazizza mu mikutu gy’amawulire .
Wabula ye Fr. Kibuuka bwetwogeddeko naye agamba nti asonyiye Nantongo n’abo bonna ababadde bagezaako okuttattana erinnya lye .