Ebya Minisita Amongi bibi eri akakiiko k’omulamuzi Bamugemereirwe

Akakiiko akakola okunooyereza mu mivuyo egyetobese mu nsonga z’ebyettaka akakulirwa Omulamuzi Catherine Bamugemerirwe katiisatiisizza okufulumya ekibaluwa ekiragira police okugombamu obwala Minisita w’ebyettaka Betty Amongi singa alemererwa okussa ekitiibwa [mu kakiiko kano n’alabikako enkya ku Lwokubiri ki kitebe ky’akakiiko kano e Wandegeya. 

Kino kiddiridde Minisita ono obutalabikako mu kakiiko kano nga bwekyabadde kirina okuba wabula ate n’asindika ebbaluwa eraga nti Ssaabaminisita yamulagidde obutawaayo mawulire gonna gakwata ku ssente z’ettaka okutuusa nga Olukiiko lwa ba Minisita lumaze okuzikakasa.

Era mu bbaluwa eno y’emu, Amongi asabye akakiiko kamwongereyo obudde amale okwebuuza ku lukiiko lwa ba Minisita alyoke alabikeko mu kakiiko kano.

Wabula ye akulira akakiiko kano omulamuzi Catherine Bamugemereirwe alumye ejjiiko era n’alabula nti Singa Amongi talabikako mu kakiiko kano enkya, ekibaluwa ekiragira okumukwata kyakuluma mbagirawo era kiweeebweko Sipiika wa Palamenti, Ssaabaminisita, Ssaabapoliisi wamu ne kunsalo za Yuganda wonn.

Leave a Reply