Omukulembeze wa National Unity Platform – NUP Hon. Robert Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine; “Mu 2017, Palamenti yalumbibwa ku biragiro bya mutabani wa Pulezidenti Museveni. Nga bakozesa okutiisatiisa wamu n’okugulirira, Ssemateeka yakwatibwamu okusobozesa Pulezidenti Museveni okwesimbawo era.
Kati mwenna muwulidde ku kiteeso kyokwagala okujja obuyinza ku bantu okwelondera abakulembeze baabwe. Mikwano gyange, byonna bitandika nga byakusaaga.”