Ekitongole ekivunaanyizibwa ku by’ebigezo mu ggwanga ekya Uganda National Examinations Board enkya ya leero kifulumizza ebyava mu bigezo bya Ssiniya eyookuna ebya 2016 era nga omukolo guno gukuliddwamu Minisita Janet Kataha Museveni nga omukolo guno guyindidde ku yafeesi ya Ssaabaminisita mu Kampala.
Ssentebe w’olukiiko olufuga ekitongole kino, Kakensa Mary Okakwol agamba nti ku luno abayizi baddiriddemu bwogeraageranya ku b’omwaka ogwa 2015.
Okwakola agamba nti okutwaliza awamu abayizi abalenze bakize ku bawala okuggyako mu Lungereza abawala mwebasingidde abalenzi. Ayongerao nti ebigezo bya bayizi 1893 biboyeddwa nga bateeberezebwa okuba nga benyigira mu kubba ebigezo.
Ye Ssaabawandiisi w’ekitongole kino, Daniel Odongo agamba nti baafunye okusaba okuva mu bakulira amasomero okusigaza ebigezo by’abayizi abataamalayo ssente.