Omulamuzi Moses Nabende owa kkooti ewozesa abalyake e Kololo
ayongezzaayo ekibaluwa kibakuntumye ekiragira okukwata eyali omuduumizi
wa poliisi owa Kampala South, Siraji Bakaleke avunaanibwa emisango 12
okuli okuwamba n’okubba bannansi ba Korea.
Nga October 5, 2018
omulamuzi Nabende yayisa ekiragiro kino ng’alagira Bakaleke akwatibwe
kubanga yali alemeddwa okweyanjula mu kkooti kyokka nga banne bwe bali
ku musango guno baali beeyanjudde. Kati giweze emirundi etaano nga
kkooti eno etuula kyokka nga Bakaleke talabikako era nga ne poliisi ekyalemeddwa okumuleeta ng’omulamuzi Nabende bwe yabalagira.
Baserikale banne bwe bavunaanibwa okuli D/ASP, Robert Munezero, D/ASP
Innocent Nuwagaba, PC Junior Amannya, PC Gastavas Babu ne PC Keneth
Zirintusa beeyanjudde mu kkooti ne babasomera emisango gino.
Omulamuzi Nabende olusomye fayiro y’omusango gwa Bakaleke ne banne
baamutegeezezza nga ye bw’ataliiwo ne balooya be bwatyo n’ayongezaayo
ekiragiro ekimukwata okutuusa nga February 14, 2019.
Okusinziira ku
muwaabi wa gavumenti, Angom Bakaleke ne banne, wakati wa February 4 ne
11, 2018 nga basinziira mu kitongole kya poliisi baakozesa bubi ofiisi
ne bakwata bannansi ba Korea okuli Park Seunghoon, Jang Seungkwon ne Ha
Dongsub ne basibwa mu bumenyi bw’amateeka.
Bakaleke era avunaanibwa
omusango gw’okwekobaana ne Samuel Nabeta ne bafera ssente ezikunukkiriza
mu buwumbi bubiri (ddoola 415,000) okuva mu kkampuni ya Mckinley
Resource Company Ltd .
Bano era bavunaanibwa n’okuwamba Abakorea
Park Seunghoon, Jang Seungkwon ne Ha Dongsub wakati wa February 4 ne 11,
2018 n’emirala