Ekibiina ekifuga omupiira mu nsi yonna kitandise okunoonyereza ku Eng. Moses Magogo Pulezidenti w’ekibiina ekifuga omupiira mu ggwanga nga emberebezi eva ku kuteeberezebwa kuba nti yatunda tikiti z’omupiira gw’ekikopo ky’ensi yonna (World Cup) ogwa 2014.
Okusinziira ku bbankaluuwa eyaweerezebwa Magogo nga eva mu Kibiina ekifuga omupiira mu yonna, kiraga nti ono avunaanibwa gwa kutunda tikiti ezaali ziweereddwa Bannayuganda okugenda okwota obuliro empaka zino. Kimanyiddwa nti eno nkola ya FIFA okuwaayo tikiti eri ebibiina ebifuga omupiira mu mawanga ag’enjawulo mu nsi yonna bannansi basobole okuzifuna ku kasente akasaamusaamu.
Ye Magogo yakkirizza nti amawulire gano gaamutuuseeko era n’ategeeza nti ba puliida be ensonga eno batandise okugibagako
Omusango guno gwateekebwayo Omubaka mu Palamenti owa Makindye ey’obukiika kkono Allan Ssewanyana ng’alanga Magogo kutunda kitiki 177 mu America ezaali ziweereddwa Bannayuganda.