Minisita avunaanyizibwa ku byokwerinda Jacob Oboth yavuddeyo nategeeza Palamenti nga bwatamanyi ku kya Maggye ga Uganda aga UPDF okuba nti gasindikiddwa e South Sudan okuyamba okukkakanya embeera nga bwekyalangiriddwa Omuduumizi w’Eggye lya UPDF Gen. Muhoozi Kainerugaba. Oboth yategeezezza nti tanatuula mu lukiiko lwonna lukiriza maggye ga UPDF kugenda Sudan. Ono yasabye Palamenti emuwe akadde amale okwebuuza oba nga ddala kituufu.
Kino kyaddiridde Omubaka Ibrahim Ssemujju nganda okusaba Omumyuuka wa Sipiika Thomas Tayebwa okusooka okuyirimiriza okuteesa, Gavumenti esooke eveeyo ennyonyole lwaki UPDF yasindikiddwa e South Sudan nga tebafunye lukusa kuva mu Palamenti ng’etteeka bwerigamba. Oboth era yayongeddeko nti Ssemujju olwokuba Munnamawulire asobola okufuna obubaka obwo nti naye ye nga Munnamateeka akolera ku bukakafu nti era ye tagoberera bya ‘social media’.
#ffemmwemmweffe
Ebya UPDF okusindikibwa e South Sudan sibimanyiiko – Minisita Oboth
