Bannaddiini nga bayita mu Kibiina kyabwe ekibataba enzikiriza ez’enjawulo ekya Inter-Religious Council of Uganda bavuddeyo nebalaga obwennyamivu ku mivuyo egyali mu kulonda Ssentebe wa Disitulikiti y’e Kayunga ku lwokuna lwa wiiki ewedde.
Bano bagamba nti oemivuyo nga gino gireetawo akabuuza ku nfuga etambulira ku mateeka ne ddemokulasiya.