ebyafaayo bya ssebulime eyatiddwa Poliisi

Nga 21-February-1977, Monday ebisa byaluma Sara Nattabi era wayitawo eddakiika ntono ddala nazaala omwana omulenzi gwebatuuma Ronald Ssebulime. Ono yazaalibwa mufumbiro lyawaka era nga nnyina yayambibwa nnyina Omugenzi Catherine Nabbowa eyali akola ogwa mulerwa.

Mubiseera ebyo, Nattabi yali abeera nebakadde be e Kabombo, Bulemeezi mu Disitulikiti y’e Luweero okutuusa Ssebulime lweyaweza emyaka 5 olwo nebasengukira e Mbikko mu Disitulikiti empya ey’e Buikwe.

Ssebulime yatandika okusam ku ssomero lya Naava Primaru School e Njeru okutuukira ddala mu kibiina eky’omusanvu.

Bwatyo Maama we Mukyala Nattabbi nga ayambibwako mukwano ggwe Mw. Matiya Kaganda, Ssebulime yafuna ekifo mu Jinja College School mu Ssiniya esooka okutuukira ddala mu ssiniya eyomukaaga mu 1996.

Mukyala Nattabi nga aliwamu ne Kitaawe wa Ssebulime omugenzi Dickson Ssentaayi bebuuza ekiddako era bwebatyo nebasalawo bamutwale asome emirimu egy’emikono.

Bwatyo mu 1997 yafuna ekifo mu Bushenyi Institute gyeyamala emyaka esatu nga asoma Diploma mu Electro Engineering era namaliriza emisomo mu 1999. Yatandika okunoonya omulimu, era omulimu gweyasooka okufuna era nga gwegwasembayo okubeera nga akozesebwa yagufuna mu kkampuni eyali epanga ‘Transformer’ e Nalukonlongo West mu Kampala.

Mwanyina Sylvia Nakayita agamba nti Ssebulime yamunyumizanga nti bakaamabe Abayindi baali nga bamutulugunya ebitagambika era lwakya lumu nakuba mukama we nga abikooye era nebabowa omusaala ggwe.

Awo obulamu bwa Ssebulime webwakyuukira era nalayira obutaddamu kukozesebwa. Yakola kyonna ekisoboka okulaba nti yetandikirawo omulimu ogugwe era bwatyo natandika okwokya ebyuuma e Bulaga ku lw’e Mityana.

Omulimu yagukola n’amaanyi mu kitundu ekyali kitandika okukula era nga lwakiri ku buli nnyumba 3 zosanga kuliko 1 erina enzigi n’amadirisa nga byakolebwa Ssebulime.

Ono yatandika okubeera e Nakabugo okuva 2002, bwatyo nazimba ennyumba ye era nga yasooka kuzimba galagi mweyali abeera era nga buli mwaka nga ayongerako ekisenge kimu okutuusa lweyagisereka nga ennyumba ye emu.

Ebisale by’okupangisa bwebyalinnya e Bulaga, Ssebulime yasalawo okuzza omulimu ggwe e Kavule ku luguudo lw’e Ssemuto.

Mukyala we Florence Zawedde bweyafa mu 2013, namulekera omwana wa wiiki 2, yagaana okuddamu okuwasa wabula n’asalawo alabirire abaana be okutuusa nga bakuze.

Kyali kizibu nnyo era baganda be nebamusaba addemu okuwasa wabula nagaana era bwatyo abaana yabatwala ewa Maama we e Mbikko gyeyagendanga buli lwa Sunday okubalabako.

Ono yazaalibwa omu mu bawala musanvu era kitaabwe bweyafa mu 2005 yeyalondebwa okubeera omusika era Nnyina agamba nti kino akikoze bulungi. Abadde akumakuma baganda be bulungi nnyo.

Ono alese abaana okuli Ester nakayita 7 P.2, Anita Nakagiri 10 p.5, nga bano basomera ku Njeru Primary School, Grace Nabulime 15 S.3 ku St Andrews SS Kabimbiri, ne Hana Nantaayi 13, mu S.1.

Moses Byron Jjemba okuva mu kibiina ekigatta abavuzi ba Ddigi Ssebulime gy’abadde mmemba agamba nti Ssebulime yattiddwa olw’okulowozebwa okuba omukyamu kuba abadde annyumirwa nnyo okuvuga nga avuganya emotoka eza’amaanyi.

Ono agamba nti kino bonna bakikola kuba bavuga Pikipiki ez’amaanyi era nga twagala okubalaga nti Piki piki zaffe zisinga emotoka zammwe ezebbeeyi. Tumanyi okuvaga netubayisa netubalinda ate oluusi tumanyi okukyuuka eyo mu maaso netubava mu maaso nga tumaze okubayisa.

Ssebulime yattibwa omusirikale wa Poliisi eyamukuba amasasi nga 24-March-2019 e Nagojje mu Disitulikiti y’e Kayunga nga kigambibwa nti yali ayagala okutta Minisita Aidah Nantaba.

Poliisi yasooka kugamba nti bawanyisiganya naye amasasi, wabula emikutu gy’amawulire wamu n’abalaba baawa ekifaananyi kirala. Poliisi yavuddeyo ku lw’okusatu nekiriza nti Ssebulime yattibwa mu bukyaamu.

 

Leave a Reply