Ssaabaminisita Rt. Hon. Nabbanja Robinah Prime Minister avuddeyo nasomesa abatuuze mu Disitulikiti y’e Bunyangabu obulungi bw’ettaka nti yentandikwa yokulwanyisa obwavu mu maka gaabwe wamu n’ekitundu okutwalira awamu, okulwanyisa ebbula ly’emmere wamu n’enkulaakulana.
Bino Nabbanja yabyogeredde ku mukolo kwebakwasiriza abatuuze abasoba mu 4000 wamu n’amatendekero agabadde ku mutendera gwobusenze nga kati gafunye ebyapa ku ttaka lya mailo ng’omukolo gwabadde ku kisaawe ky’essomero lya Kibiito Secondary School.
Nabbanja yannyonyodde nti Manifesto ya National Resistance Movement – NRM yasuubiza okukuuma Bannanyini ttaka okwetoloola Eggwanga lyonna nga bayita mukubagabira ebiwandiiko ebitongole okuva mu Gavumenti ebyoleka obwannanyini ku ttaka okwewala okusengulwa.
Nabbanja era yalabudde abakozi ba Gavumenti okwewala okukozesa obubi ssente za PDM era nabasaba okuyamba abantu kati abafuuse bannanyini ttaka nga babawa ensimbi za PDM bekulaakulanye n’okweyimirizaawo. Yakuutidde abantu bano obutakutulakutula mu ttaka eribaweereddwako ebyapa nga Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni bweyawabula nti era Gavumenti netegefu okwongera okubawa obuyambi.
Ye Minisita avunaanyizibwa ku byettaka, amayumba n’enkulaakulana y’ebibuga Judith Nabakooba yategeezezza nti enkola eno eyokugaba ebyapa yakuyamba mukumalawo enkayaana ku ttaka mu Ggwanga.
Minisita Nabakooba yayozaayozezza abatuuze ababadde abasenze ku ttaka eriweza yiika 3155 (Square miles 5) nga kati bafuneye ebyapa ebisoba mu 4454. Nabakooba agamba nti kati mu Tooro Sub-Region nga bayita mu Land Funda basobodde okufuna ettaka eriweza yiika 30,370 (48 Square Miles), wabula Gavumenti erina ekigendererwa ekyokufuna yiika 334,458 (523 Square Miles) okwetoloola eggwanga lyonna nekigendererwa ekyokumalawo okusengula abantu ku ttaka.
Ettaka eryagabiddwako ebyapa lyali lya Omukama Patrick David Mathew Kaboyo owa Tooro eryadda mu mikono gya Best Kemigisa (Administrator wa Estate y’omugenzi Patrick David Mathew Kaboyo). Gavumenti yamusasula era nerizzibwa mu Uganda Land Commission nga 19 February, 2009.
Ettaka eddala ku Block 32 Plot 1 lyali lya Mustaq Abdulah Bhegani eyasasula Gavumenti ng’eyita mu Land Fund nerikyuusibwa okudda mu Uganda Land Commission nga 2, May, 2011.