Ebyava mu misinde gy’amazaalibwa ga Kabaka byanjuddwa.

Abaddusi baali emitwaalo 50,000
Ensimbi obukadde 494,200,000 zezavaamu.

Obukadde 200 bugenda kuwebwayo eri aba central Health Laboratories e butabika busobole okugula ebyuma ebikozebwa mu kukebera obulwadde bwa Nalubiri.

Ate obukadde 294,200,000 bugenda kukozesebwa okwongera okubunyisa enjiri ekwata ku bulwadde bwa Nalubiri.

Bwabadde ayanjula enteekateeka eno eri bannamawulire, omumyuka wa Katikkiro ow’okubiri era Minisita w’eby’ensimbi, Robert Waggwa Nsibirwa, agambye nti Ssaabasajja Kabaka akoze omulimu munene mukuduukirira embeera zebyobulamu mu bantu wamu nokubamanyisa ku ndwadde zinamutta.

Owek Robert Waggwa Nsibirwa agasseeko nti kyetaagisa abantu okwongera okumanyisibwa ku ndwadde zino nga yensonga lwaki obwakabaka bwateekawo emisinde gino.
Endwadde ezenjawulo zeyongedde nnyo mu bantu olwobutamanyisibwa bulungi era tusuubira nti 200 million tuba twongedde ettofaali dddene ku gavumenti mukulwanirira ebyobulamu byabantu.

Ye Minisita w’eby’emizannyo, abavubuka n’okwewummuza, Henry Kiberu Ssekabembe agambye nti kulukalu lwa Africa gino gy’emisinde ejikulembedde era akunze abantu ba Kabaka okujijjumbira buli mwaka.
Robert Kabushenga Ssentebe wakakiiko k’emisinde gino ategeezezza nti gyatambula bulungi era mumativu n’ebyo ebyavaamu. Atwala eby’empuliziganya mu Airtel, Remmy Kisakye yeebazizza obuganda obwavaayo okwetaba mu misinde jino era wano akunze abantu bonna okwongera okutambuza enjiri ey’obulwadde buno .
Kisakye yeyamye okukolagana n’obwakabaka okuggusa kaweefube w’okutumbula embeera y’eby’obulamu mu bantu

Leave a Reply