Eby’obugagga bya bbanka ezaggalwa tebirabikako

Ebyobugagga bya buwumbi 98 ebyali ebya Bbanka ezaggalwa okuli: International Credit Bank mu 1998, Cooperative Bank mu 1999 ne Greenland Bank mu 1999 tebirabikako. Ebyobugagga bya bbanka zino bye bimu ku byabuuziddwa abakungu ba Bbanka Enkulu bwe baabadde balabiseeko mu kakiiko ka Palamenti akavunaanyizibwa okulondoola emirimu n’ensaasaanya mu bitongole bya gavumenti aka COSASE, akakubirizibwa Abdu Katuntu (Bugweri).

Okusinziira ku lipooti eyafulumizibwa omubalirizi w’ebitabo bya Gavumenti mu 2016, bbanka essatu we baaziggalira zaali zibalirirwamu ebyobugagga bya buwumbi 117. Kyokka omubalirizi w’ebitabo we yaddiramu okubalirira eby’obugagga bya bbanka zino nga June 30, 2016 byali biweza obuwumbi 19 zokka.

Kino kitegeeza nti ebintu bya buwumbi 98 byali tebikyalabikako.

Bino mwalimu ssente enkalu, amabanja, ebintu ebikalu, ebyapa by’ettaka n’ebintu ebirala. Ababaka beewuunyizza okulaba nga aba Bbanka Enkulu baabadde tebalina biwandiiko mu bujjuvu ebikwata ku byobugagga ebyabula.

Lipooti y’omubalirizi w’ebitabo bya Gavumenti egamba nti okuva bbanka lwe zaggalwa ebyobugagga byazo bingi bizze bikendeera, wadde nga tewali kiwandiiko kiraga byatundibwa oba okubuzibwawo.

Ben Sekabira omukungu eyaweebwa obuvunaanyizibwa bw’okuddukanya Bbanka

zonsatule nga tezinnaba kuggalwa yategeezezza nti lipooti nnyingi ezaakolebwanga era nga yaziweerezanga bakama be okwali: Apollo Obbo, Margaret Matovu ne Justine Bagyenda.

Akakiiko kaalagidde Sekabira okusooka okukuba ekirayiro n’akakasa nti byonna bye yabadde agenda okwogera mazima meereere. Kino kyaddiridde okusooka okwogera ebitakwatagana. Akakiiko kaasazeewo abasatu abaayogeddwaako nti baafunanga lipooti, okweyanjula mu kakiiko ku Lwokuna basobole okubeerako bye batangaaza.

Kyokka Gavana wa Bbanka Enkulu, Emmanuel Tumusiime Mutebile agambye nti tajjukira kulaba ku lipooti yonna eyakolebwa ng’ekwata ku bbanka zonsatule nga zimaze okuggalwa.

Leave a Reply