Ebyokuluya mubiggyewo mu Palamenti kuba abantu batya okubirya – Hon. Nambooze

Omubaka wa Mukono Municipality Munnakibiina kya National Unity Platform Mp Nambooze Bakireke Betty; “Ekyokutya okuweebwa obutwa bwekyeyongedde, Abakozi ba Gavumenti bangi kati batya okulya mu nkiiko n’obubaga bwebabaako, nze ne Bammemba bwetutuula ku Kakiiko ka Palamenti aka Government Assurance Committee (GAC) twakiriziganyizza nti Palamenti ya Yuganda erekeraawo okuteekawo ebyokulya kuba bangi babirekawo nga tebabalidde, ssente z’omuwi w’omusolo ziteekebwe mu kintu ekirala.”

Leave a Reply