Kaweefube w’okuggya erinnya People Power ku Bobi Wine akyagudde butaka. Waliwo omusajja Didas Nshingiro eyatandise ku kaweefube w’okuwandiisa People Power mu September wa 2018.
Yageze mu kitongole ekya Uganda Registration Services Bureau (URSB) ekivunaanyizibwa okuwandiisa amakampuni, bizinensi n’ebibiina, mu Uganda yonna ne yeekwata erinnya “People Power Initative (U) Ltd. Wabula teyasobodde kutuukiriza misoso egy’okuwandiisa erinnya eryo kubanga omwezi omulamba ogwali gumuweereddwa aba URSB okuwandiisa erinnya gwaweddeko nga October 19, 2018 nga tamalirizza nteekateeka eyo.
Kino kitegeeza nti omuntu omulala akyayinza okuwandiisa erinnya eryo. Omutegesi w’ebivvulu mu Kampala, Balaam Barugahara eyayogeddwaako ng’awomye omutwe mu kuwandiisa ‘People Power’ avuddeyo n’atgegeeza nti abali mu by’okuwandiisa ‘People Power’ balala.
Kyokka ye abawagira kubanga balina ekigendererwa ky’okuyamba abavubuka n’okubafunira emirimu. “Nze siri mu byakuwandiisa ‘People Power’. Njagala babeerewo tuvuganye nabo kubanga Bobi Wine ne banne bakyali banafu, tebasobola NRM”, bwe yategeezezza Radio Simba eggulo. Radio Simba yanoonyerezza ku by’okuwandiisa ‘People power‘ ne tuzuula ng’erinnya eryo tewali yali aliwandiisizza.
Eyayagala okuliwandiisa yakoma ku mutendera ogusooka ogw’omuntu oba kkampuni okwekwata erinnya wabula singa wayita omwezi nga toliwandiisizza, erinnya likuggyibwako, era omuntu omulala asobola okulyekwata.
Ku Mmande, amawulire gaasasaanye nga Balaam ne banne bwe batebuse Bobi Wine ne bawandiisa ‘People Power’. Kino kyatabudde aba ‘People Power’ nga bagamba nti, Balaam n’aba NRM ne bwe banaawandiisa erinnya eryo, bbo bajja kusigala nga bakozesa ekigambo, “People Power Our Power”.
Bobi Wine abadde akozesa ehhombo ya ‘People Power’ okuva mu kampeyini mwe yawangulira ekifo ky’omubaka wa Kyaddondo East mu 2017, era erinnya ‘People Power’ kati lye lyafuuka erinnya ly’ekisinde ky’enkyukakyuka Bobi Wine z’aluubirira okuleeta. Wabula mu kunoonyereza Radio Simba azudde nga ‘People Power’ tekinnawandiisibwa n’erinnya eryo tewali alyekutte ng’oggyeeko Didas Nshingiro eyali alyekutte mu 2018 kyokka n’alemwa okutuukiriza emisiso.
Balaam bwe yatuukiriddwa eggulo yagambye nti, tawandiisanga ku ‘People Power’ kyokka yabadde akanga abooludda oluvuganya Gavumenti okulaba oba bo baakiwandiisa. “Nga owa NRM navuddeyo nga njagala kulaba oba ddala bano abantu be tuvuganya nabo bali ku mulamwa kubanga tosobola kweyita kintu nga tokirinaako bwannannyini era nze kye nnabadde njagala nnakizudde”, bwe yagambye.