Okuddamu okulonda omubaka omukyala akiikirira distirict ye Rukungiri kwa leero wabula eby’okwerinda binywezeddwa era nga abasirikale ba poliisi balabiddwako kunguudo mu bitundu eby’enjawulo.
Patrick Onyango, omumyuka w’omwogezi wa poliisi agamba nti kino kikoleddwa okukuuma eddembe wamu n’okukuuma abalonzi nabavunaanyizibwa ku by’okulondo. Era ayongedde nannyonyola nti bajja kunyweza eby’okwerinda mu bitundu bye Buyanja, Kebisoni, Bikurungu, ne Nyarushanje, gyebasuubira okubeera effujo.
Okuvuganya okwamaanyi kuli wakati wa Winnie Masiko owa NRM, Betty Bamukwasa Muzanira owa FDC, Fabith Kukundakwe owa n’owa Independent Prisca Sezi Mbaguta.