Okukubaganya ebirowoozo ku ky'okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti kwongedde okutaataaganyizibwa n'okuggyamu omukoosi mu lutuula lwa Palamenti olusoose enkya ya leero oluvannyuma lwOmubaka wa Disitulikiti y'e Amuru , Lucy Akello okutegeeza olukiiko nti abajaasi bayingidde Palamenti era nga bali mu kifo ababaka Abakulisitaayo mwebasinziza ( House's Anglican and catholic chaplaincy)
Omubaka Akello abadde y'akava ku muzindaalo , Omubaka wa Bukholi ey'amasekkati era nga ye mumyuka wa Ssentabe w'akabondo k'ababaka ba NRM , Silwany Solomon n'akakasa Palamenti nti abajaasi abali mu kifo awasinzizibwa ababaka yabalabye naye babadde bazze kusaba (kusinza) ekiggya babaka banne aba NRM mu mbeera nebamukuba olube ekiviiriddeko Sipiika okwongezaayo olutuula okutuusa essaawa munaana lulyoke luddemu okutojjera.
Wabula ekireese akasambattuko nga ababaka bafulumye ekisenge mwebateeseza be babaka ab'oludda oluvuganya Gavumenti era abawakanya ekiteeso kino okulwanagana n'abaserikale nga babaggyako amasowaani, ebikopo, obucupa bw'amazzi n'ebintu ebirala ababaka byebagamba nti abajaasi byebabadde bakozesa.