Ebyokwerinda byongedde okunywezebwa ku Palamenti

Ebyokwerinda byongedde okunywezebwa ku kibuga Kampala naddala ku City Square wamu n’okwetoloola Palamenti nga Police ne Military biteevuunya wadde nga Police tennafulumya kuwandiikira kyonna ekinnyonnyola ku  mbeera eno .

Kino kijjidde mu kiseera nga waliwo abavubuka abawerako ababadde baateekateeka okegugunga nga balaga obutali bumativu bwabwe nga basimbira ekkuuli oky’okutaganjula Ssemateeka okuggya ekkomo ku myaka gy’omukulembeze w’eggwanga ekikulembeddwamu ababaka mu Palamenti ab’ekibiina kya NRM.

 

Leave a Reply