Ebyokwerinda e Namugongo biri gguluggulu – Police

Police egamba nti ebyokwerinda biri gguluggulu e Namugongo mu kwetegekera emikolo gy’okujjukira  abajulizi ba Yuganda egy’omwaka guno 2017.
Ayogerera Police mu ggwanga, Asan Kasingye agamba beat,  ” Police eggyakwongera okugenda mu maaso n’okukulembera ebitongole ebirala n’abantu ba bulijjo wamu ne Minisitule ya Tourism World life and Antiquities okulaba nti tusigala mu ddembe ppaka enkomerero y’omukolo guno,  Police eggyakugenda mu maaso n’okulaba nti abantu bonna basaba bulungi era tusuubira nti waggyakubaayo abalamazi abasoba mu million ebbiri”. 
Kasingye abuulidde abantu nti abagenda e Namugongo baleme kutunula butunuzi na kwebaka kaboleredde wabula betegeeze Police kyebalabye era n’agaba n’ennamba z’amasimu ezookukozesa nga zeezino : 112 ne 999.
Leave a Reply