EC efulumizza enteekateeka y’akalulu ka Kyaddondo East

Akakiiko k’ebyokulonda akeetongodde olwaleero kalangiridde enteekateeka z’okujjuza ebifo ebyasigala nga bikalu.

Gyebuvuddeko kkooti ejulirwamu yasazaamu okulondebwa kw’omubaka mu Palamenti akiikirira Kyaddondo ey’obuvanjuba mu Disitulikiti y’ e Wakiso, Apollo Kantinti olw’okuba akakiiko k’ebyokulonda tekaagoberera bulungi  mateeka ga byakulonda .

Omulamuzi Simon Byabakama avuddeyo n’ategeeza nti bagenda kutandika nakusisinkana abantu abkwatibwako ensonga nga 22 guno ogwa Muzigo n’oluvannyuma about  abaagala okuvuganya beewandiise nga 30 ne 31 omwezi guno ate olwo okusuula akalulu kubeewo nga 26 omwezi gwa Ssebaaseka omwaka guno.

Ssentebe Omulamuzi Byamukama bino abyogeredde mu lukungaana lwa Bannamawulire olutuuziddwa ku kitebe ky’akakiiko k’ebyokulonda mu Kampala.

Leave a Reply