Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda aketengeredde aka Independent Electoral Commission Omulamuzi Simon Byabakama akakasizza Kamoga Jamilu atalina kibiina, Musisi Boniface Bandikubi atalina kibiina, Muwonge Andrew owa NRM, Nakweede Harriet (NUP), Nyanzi Majid atalina kibiina ne Munna DP Waddimba Anthony okuvuganya ku bwa Ssentebe bwa Disitulikiti y’e Kayunga.