Bannamateeka akiikirira Omubaka Munnakibiina kya National Unity Platform – NUP akiikirira abakyala ba Disitulikiti y’e Mityana Joyce Bagala obuwanguzi bwe obuwakanyizibwa Minisita Judith Nabakooba Munnakibiina kya National Resistance Movement – NRM bagamba nti kyandiba nga akakiiko k’ebyokulonda aketengeredde aka Electoral Commission Uganda kagezaako okwekoobaana ne Minisita baggyewo amazima n’obwenkanya.
Bino byayogeddwa Munnamateeka Erias Lukwago eyakulembeddemu Bannamateela ba Joyce oluvannyuma lwokulabikako eri Registral wa Kkooti Ejjulirwamu Dr. Alex Mushabe.