Economy teyinza kuba mbi mpozzi ng’aboogera ekyo tebalina maaso galaba – Museveni

Pulezidenti Yoweri  Kaguta Museveni  ayogeddeko  eri eggwanga akawungeezi ka leero  ku ngeri eggwanga gyeriyimiriddemu nga asinziira ku Serena Hotel mu Kampala era nga mu bimgi by’ayogedde,  mwemubadde eby’okwerinda, ebyenfuna nga wano yeetoolooledde nnyo  ku bavubuka wamu n’enteekateeka ya Operation Wealth Creation, ebyentambula, amasannyalaze  n’ebirala njolo.

Pulezidenti bwatuuse  ku by’enfuna n’amasannyalaze,  n’asekerera abo abagamba nti Economy mbi era wano n’ategeeza  nti omulundi ogusookedde ddala, Economy erina amasannyalaze  mu bungi okusukka ne kugetwetaaga, n’olwekyo teyinza kuba mbi mpozzi ng’abo tebalina  maaso galaba.

Wabula bwabadde ayogera ku by’okwerinda, Pulezidenti Museveni agambye nti amagye g’eggwanga galina obusobozi bwonna obukuuma obutebenkemu mu ggwanga nga tewali n’omu alitaataaganyizza wabula n’awa abakulembeze ba Police amagezi nti balina okuwuliriza abantu n’okulongoosa obumulumulu obubalimu nga kwotadde n’okuba n’enkolagana ennungamu n’abantu ba bulijjo.

Museveni  bwatuuse ku by’obulimi n’ategeeza eggwanga nti tulina omukisa nti gyebuvuddeko eggwanga libadde  lifulumya amata obungi bwa Liita obukadde 200, kati tufulumya liita obuwumbi bubiri.

 

Leave a Reply