ED wa Kampala asibulukukidde wamu n’abakozi n’abakulembeze Abayisiraamu mu Nakawa Division

Olunaku lweggulo KCCA Nakawa Division ngeri wamu ne Nakawa Ummat Muhammad Group basibuuludde Abakozi wamu ne Bannabaybufuzi Abasiraamu ku Kitebe kya Division. Sipiika wa Nakawa Luyombya Godfrey yebazizza nnyo Abasiraamu olwokutuukiriza emu ku mpagi z’Obusiraamu.
ED wa Kampala Capital City Authority – KCCA Hajat Sharifa Buzeki naye yetabye mu kusiibulukuka kuno. Abakulembeze e Nakawa bakozesezza omukisa guno okukaatiriza ensonga yokuteekesa Kampala Drainage Master Plan ngetwaliramu okudaabiriza emyala okuli; Kinawataka Drainange, Mulimira-Bukoto, egiyamba ennyo mukutambuza amazzi ekijja okuyamba okukendeeza ku mataba mu bitundu ebyo.
Leave a Reply