Eddwaliro lya Ssegiriinya ligaddwa lwa nsimbi

Eddwaliro eryatandikibwawo Omubaka wa Kawempe North Munnakibiina kya National Unity Platform Muhammad Ssegiriinya ali mu nkomyo erya Kawempe Medical Center bwebaliggaddewo oluvannyuma lw’ensimbi eziritambuza okubabula ate nga eyali yaliwomamu omutwe yaggalirwa.
Okusinziira ku muyambi wa Ssegirinya, Alex Luswa Luwemba agamba Abavujjirizi ababadde bateekamu ssente baabivuddemu nga kati basobeddwa kubanga tebakyalina zaakusasula nakugula ddagala.
Leave a Reply