Eddwaliro ly’e Iganga lifulumizza agamu ku mannya g’abantu abafiiridde mu kabenje akagudde ku kyalo Bukonte ku luguudo lwa Iganga – Mbale – Tirinyi mu Disitulikiti y’e Namutumba Bbaasi ya YY coach bweyatomereganye ne Takisi
Bano kuliko:
- Okwi Aliko Umar ow’e Nampirika Iganga eyabadde avuga takisi.
- Alukosi Simon 35, ow’e Busowa Bugiri.
- Muwamba Afuwa ow’e Tongolo Buikwe.
- Okumu Vicent ow’e Nawansagwa.
- Waiswa Ibraim Mugoya ow’e Nakivumbi Bugweri.
- Mwesi Godfrey ow’e Bukoye Namutumba.
- Alice Alijebonetaku n’ababala 3 ababade tebanategerekeka mannya nga kino kivudde ku bantu ab’emitima emikyaamu okunyaga obusawo omwabadde ebiwandiiko ebyogera kubagenzi.