Eyaweebwa pulojekiti y’okuzimba eddwaliro lya International Specialized Hospital Uganda e Lubowa negyebuli kati tamalirizanga musingi gwalyo nga ebula omwezi gumu gwokka okusinziira bweyala eddwaliro lino libeere nga liwedde.
Omusigansimbi agamba nti ekirwadde kya #COVID-19, namutikwa w’enkuba atasalako wamu n’ensimbi byebimu kubimulemesezza okumaliriza eddwaliro lino mu budde. Mu 2019, Palamenti ya Yuganda yeyimirira ebbanja lyabwesedde 1.4 okuva liweebwe SPV Finasi/Roko nga ekulemberwa Munnansi wa Italy Enrica Pinetti okuzimba eddwaliro eriri ku mutindo lya bitanda 264.
Wabula oluvannyuma lwokuyisa ensimbi zino ate kyategeerekeka nti enkolagana wakati wa Finasi ne Roko yali eweddewo wakati webyali byogerebwa nti ensimbi eziwerera ddala obuwumbi 240 zaali zibulankanyiziddwa nga ne Pulojekiti tenatandika.
Minisitule y’Ebyobulamu bweyali ekwasa omusigansimbi ettaka nga 10-June-2019 kyategeezebwa nti okuzimba eddwaliro kwali kwakomekerezebwa mu June 2021, wabula eddwaliro lino likyali ku musingi nga okusinziira ku Minisita w’ebyobulamu Dr. Jane Ruth Aceng Ocero, bayongeddeyo emyezi emirala 15 okulaba nti limalirizibwa.
Aceng bweyabadde mu maaso g’Akakiiko ka Palamenti ak’ebyobulamu wiiki eno yategeezezza ababaka nti nga 10-Feburary-2020, Eng. George Otima yekeneenya emirimu egirina okukolebwa nakiriza boongereyo emyezi 3 olwembeera y’obudde embi eyali mu kitundu kye Lubowa nga eva kunkuba ennyingi eyali etonnya mu kiseera ekyo. Nti era bayongera nebasaba emyezi emirala 12 olwokuba bakosebwa omuggalo gwa COVID-19 nga abakozi okuva ebweru w’eggwanga baali tebasobola kujja mu Ggwanga.
Kati okumaliriza eddwaliro kuwezezza emyezi 39 nga lisuubirwa okumalirizibwa nga 9-Sept-2022.