Big Eye StarBoss avuddyo nalumba Eddy Kenzo; “Amazima agakaawa!
Kyanaku nnyo nti mulirwana wange teyasobodde kuwangula Grammy Award naye nze ndowooza osanga oba yandibadde Big Eye, Azawi, Daddy Andre, Apass, Fik Fameica, Spice Diana, Sheebah, Lydia Jazmine, Rema nabalala.
Osanga award nnyingi zandibadde wano mu Yuganda.
Naye Omuniga ono yesigaliza abantu nengeri gyetuyinza okutuukayo kati emyaka 9. Abantu abamu tebasaana nakukozesa ŋŋombo ya Yuganda ‘Kulwa Katonda n’Ensi Yange’ kuba mu mitina gyabwe balina ‘Kulwa Katonda Nange kennyini’. Nsuubira mbeera sirimbye bwengamba nti tayagaliza balala. Kino nkyogedde nga 6-02-2023.”