Editor UBC Radio aleeteddwa ng’omujulizi asooka mu gwa Ssegiriinya

Omusunsuzi w’amawulire ku Leediyo ya Uganda Broadcasting Corporation (UBC), Juliet Nayiga olunaku olwaleero yasoose mu kaguli ng’omujulizi mu musango oguvunaanwa Omubaka wa Kawempe North Munnakibiina kya National Unity Platform – NUP Muhammad Ssegiriinya ogw’okukuma omuliro mu bantu.
Gavumenti evunaana Hon. Ssegiriinya aka Mr. Updates okukuma mu bantu omuliro omwali okuwandiika obubaka ku mukutu gwe ogwa FaceBook ogwa ‘Ssegirinya Muhammad FANS PAGE‘ nga byalina ekigendererwa eri ekibinja kya Bannayuganda ekimu.
Kigambibwa nti wakati wa August ne September 2020, Hon. Ssegiriinya yawandiika obubaka buno; “I am warning those who are trying to assassinate Hon. Robert Kyagulanyi Sentamu aka Bobi Wine that what will happen will be forty times worse than the 1994 Rwandan genocide.”
Omulamuzi Siena Owomugisha, bwayise abawaabi ba Gavumenti; Peter Mugisha ne Ivan Kyazze baleese Nayiga ng’omujulizi waabwe asooka.
Nayiga ategeezezza Kkooti nti Managing Director wa UBC radio yamuwa omulimu gwokuvvuunula n’okuwandiika script mu butambi bwa Ssegiriinya obwali bukuma omuliro mu bantu obwabaweebwa ekitongole kya Uganda Police Force ekikola ku kunoonyereza ku buzzi bw’emisango ekya Criminal Investigations Directorate.
Okusinziira ku Nayiga, bweyafuna CD eriko obutambi okuva gyatamanyi yawuliriza nawandiika Ssegiriinya byeyali ayogera. Ono alaze ebbaluwa eyawandiikibwa CID eri MD wa UBC Radio nga Poliisi emusaba okuvvunuula ebyo.
Wabula Bannamateeka ba Ssegiriinya okuli Asuman Basalirwa ne Shamim Malende bawakanyizza ekya Nayiga okuleeta ebbaluwa nebategeeza nti tesobola kubeera bujulizi kuba mu mateeka tosobola kuleeta kiwandiiko ng’obujulizi nga tebakiwandiikira ggwe ng’omuntu oba nga si ggwe wakiwandiika.
Basalirwa asabye Kkooti egobe ebbaluwa eno kuba Nayiga atwalibwa okuba omuntu owookusatu atalina buyinza kuleeta bbaluwa eno. Wabula omulamuzi akiwakanyizza nalagira Nayiga okugenda mu maaso n’okuwa obujulizi. Obutambi bubiri bulagiddwa mu Kkooti nga akamu ka ssaawa ate akalala ka Ddakiika 2. Ssegiriinya abadde ku nkola ya Zoom okusinziira mu kkomera e Kigo awuliddwa ng’ayogera ebigambo byebimu ebiri mu katambi ebimuvunaanya.
Malende asabye Nayiga okutegeeza Kkooti ekigambo ‘genocide’ kye kitegeeza mu Luganda naddamu nti ‘Kyemwalaba e Rwanda mu 1994’ ekireeseewo ekibbo ky’enseko mu Kkooti.
Bannamateeka bategeezezza Kkooti nti Nayiga talina bumanyirivu wadde olukusa lw’okuvvuunula ekintu kyonna kabe mukama we UBC.
Bannamateeka ba Ssegiriinya basabye Nayiga annyonyole ‘Elements of diction and oxymoron’ kuba yategeezezza Kkooti nti yasoma Literature n’Oluzungu, wabula bino ebyabalamye. Nayiga yategeezezza Kkooti nti yasomerako ne Sweden.
Bannamateeka okutuuka okumubuuza ekibuuzo kino kyaddiridde okusanga ensobi mu byeyavvuunula nga bagamba nti empandiika yabadde nfu ekireetawo okukyuusa amakulu. Omujulizi owookubiri abadde musirikale wa Poliisi wabula atasobodde kuwa bujuli kuba abadde n’olukiiko. Okuwulira omusango kuddamu nga 22-March-2022.
Leave a Reply