Ekikangabwa kibuutikidde abatuuze ku kyalo Bulubandi ekiri mu gombolola y’e Nakigo mu Disitulikiti y’e Iganga, omwana ow’emyaka 10 bwakasuse ejjinja nga akuba emiyembe nerikuba ebbujje lya myezi mwenda nerikalirawo.
Omwana ono ne banne abalala babadde bakuba miyembe mu Luggya wabula wabaddewo ebbujje ebbali era e Jinja neririkuba nerikalirawo.
Omwogezi wa Police mu bitundu bya Busoga avumiridde abazadde abakuza abaana ab’ekyejo ssaako n’okulagajjalira amabujje.
Wabula Police ezze n’eggyawo omulambo n’egutwala mu ggwanika ly’eddwaliro ly’e Iganga nga bwekola okunoonyereza.