Ekibinja ekisooka ekya bannayuganda abasoba mu 3000 abaggyiddwa e South Sudan kimaze okwesogga Yuganda okwaboobwe .
Omwogezi w’amagye ga Yuganda Lt . Paddy Ankunda ng’ayita ku mukutu gwa Yintaneti agambye nti ekiwayi ekisooka kimaze okusomoka Sudan ey’amaserenegeta okuyingira Yuganda
Wabula bo bannansi ba South Sudan abali mu Yuganda bavumiridde ebikolwa eby’okulwanagana ebyaddamu okubalukawo wakati w’abajaasi abangondera Pulezidenti Salvar Kiir n’abomumyuka we Riek Machar .
Bano mukafubo ketubaddemu nabo nga abasinga babadde bayizi ba masomero bagamba nti okulwanagana kwakongera okutaaataaganya abantu ba bulijjo .
Kinnajjukirwa nti okulwanagana kuno kwaddamu okubalukawo mu ssabbiiti ewedde nga mwafiiriddemu bannayuganda mukaaga mulambirira .