Kkooti Enkulu mu Kampala esindise Munnamateeka Eron Kiiza ku alimanda mu Kkomera e Kitalya okutuusa ku bbalaza nga 3-March-2025 oluvannyuma lwa Kkooti okujjuliza Attorney General nti yalemererwa okwanukula ebibuuzo bya Bannamateeka ba Kiiza. Gavumenti newakanya ekibonerezo ekyaweebwa Kiiza kyali kyakisa nnyo ekyemyezi 9 ngegamba nti omuntu ayisizza olugaayo mu Kkooti y’Amaggye abeera alina okusibwa emyaka lwakiri 10.
Bya Christina Nabatanzi
#ffemmwemmweffe
Ekibonerezo ekyaweebwa Kiiza kyakisa nnyo – Muwaabi wa Gavumenti
