Ekinyonyi ky’eggwanga kiggwawo

Abalwanirira okukuuma obutonde bw’ensi bavuddeyo ne bagamba nti ebinyonyi bigenda biggwawo mu ggwanga lyattu Yuganda nga mw’otwalidde n’ekinyonyi ky’eggwanga olw’obutonde bwensi obusaanyizibwawo entakera  .

Akulira ekitongole kya Nature Conservation , Achilles Byaruhanga ategeezezza nti eky’okubulawo kw’ebinyonyi omuli n’ekinyonyi ky’akabonero k’eggwanga kivudde ku kusaanyizibwawo kw’entobazzi .

Ayongerako nti Yuganda mu myaka gy’e 70 yalina ebinyonyi (eby’akabonero k’eggwanga) emitwalo kkumi(100.000) naye kati waliwo omutwalo gumu (10.000) .

Byaruhanga agamba nti kyennyamiza nnyo okulaba nga  abasawo b’ekinnansi bettanira nnyo okuwenja ekinyonyi kino nga bakigabira abantu ng’eddagala ly’ekinnansi naddala mu by’obufumbo .

Leave a Reply