EKIRWADDE KYA COVID-19 KYEYONGEDDE MU YUGANDA

Minisita w’Ebyobulamu Dr. Jane Ruth Aceng Ocero avuddeyo olunaku olwalweero okutegeeza eggwanga nga bweriyimiridde ku byekirwadde kya #COVID-19.
Minisita agamba nti wakati w’omwezi gwa March ne April 2021 abakwatibwa ekirwadde kya COVID-19 beyongedde ebitundu 81 ku 100. Nti era abantu abali wakati w’emyaka 10-29 nabo beyongedde okukwatibwa obulwadde buno. Ayongeddeko nti obulwadde buno bweyongedde mu Disitulikiti okuli; Kiryandongo, Adjumani, Soroti, Oyam, Gulu ne Jinja.
Obulwadde okubalukawo e Jinja agamba nti bwavudde ku muntu omu eyava e Buyindi eyasisinkana abantu 4 nga omu ku bbo akolera mu kkolero erimu e Buikwe.
Ensi eziteekeddwa mu muteeko ogusooka: India era nga ennyonyi z’abasabaze abava mu nsi eno zayimiriziddwa okuva nga 1-May.
Ensi eziteekeddwa mu muteeko ogwokubiri:
Abasaabaze okuva mu nsi okuli; USA, United Kingdom, United Arab Emirates, Turkey, South Africa, Ethiopia, Kenya, South Sudan ne Tanzania abawadde amagezi okwongezaayo engendo zaabwe bwebaba basuubira okujja mu Yuganda.
Agamba nti Omuntu yenna kabeera Munnayuganda bajja kukola PCR COVID-19 test wonna webanyingirira Yuganda kakube kisaawe Entebe.
Leave a Reply