Akasattiro kabaluseewo mu ddwaliro lya Gavumenti erye Mubende, oluvannyuma lwa abalwadde babiri okuleetebwa nga balina obubonero bw’ekirwadde kya Ebola.
Abalwadde bano a babiri Innocent Kenan ne munne baggyiddwa mu Disitulikiti ye Kibaale mu ddwaliro lya Disitulikiti erya Health centre 4.
Atwala e ddwaliro lye Mubende Dr. Kibuuka ategeezezza nti bamaze okubaggyako omusaayi gutwalibwe ku kitebe ekikebera akawuka e Ntebe ku Virus Institute.