Ekirwadde ky’ente ekittirawo kirumbye Mubende

Abalunzi b’ente e Mubende bibasobedde olw’ekirwadde ekitrimbula ente zaabwe ekizinzeeko ekitundu ,ekyakatta ente ezisoba mu 100 mu sabbiiti emu.

Ekirwadde kino ekitirimbula ente kisinze kwegirisiza mu gombolola y’e Kigando era nga eno y’emu kugombolola esingamu abalunzi mu disitulikiti y’ e Mubende.

Bino olugudde mu matu Minisita omubeezi ow’e byobulunzi n’amagana , Joy Kafura Kabatsi naazambalira ku mugongo nga nswa okwolekera Mubende okulaba ki ekimalawo ente zino.

Kafura Kabatsi ategeezezza nti bakizudde nga ente zino zitawaanyizibwa ekirwadde ekiva ku nkwa era n’asuubiza nga Gavumenti bwegenda okuweereza eddagala okuyamba abalunzi bano era neyeekokkola eddagala ly’e bicupuli lyagambye nti lisusse ku katale.

Kibazo Tonny, Mulumba John ne Abaaho Patrick abamu ku balunzi abakoseddwa ekirwadde kino, bategeezezza nti ente ekwatiddwa ekirwadde kino ekiva ku nkwa efa mu nnaku 2 zokka , era nga esooka kufuna musujja nga bwe bagenda okugibaaga basanga omutima gujjudde amazzi.

Leave a Reply