Ekirwadde eky'okusannyalala (Stroke) kyongedde nnyo okukwata abaami okusinga ku bakyala era nga kigambibwa nti abaami okweraliikirira kwekusinze okuleeta bino wonna mu ggwanga.
Abakugu mu kunoonyereza mu myaka mukaaga egiyise nga bali ku bantu 32 kwebaazuulira nti ekirwadde kino kikutte nnyo abantu abakuze okusukka mu myaka 50 egy'obukulu era nga kino UK kizuuliddwa mu bitundu eby'enjawulo eby'eggwanga.
Dr. Makko Kaddu Mukasa omukugu mu ndwadde ez'okusannyalala agamba nti abantu ebitundu kkumi ku buli kikumi abali mu maserengeta g'eddungu Sahara bakubwa nnyo ekirwadde eky'engeri eno.