Police e Mayuge eri mu Kunoonyereza ku nfa y’omwana omulenzi ow’emyaka omukaaga eyasalibwako omutwe gyebuvuddeko nga n’omulambo gwe gusangiddwa mu ssamba y’ebikajjo nga gutandise okuvunda.
Omwana ono Muyita Juma abadde muyizi mu masomero lya Mirembe Junior School e Kawempe ekiri ku nkingiizi z’ekibuga Kampala nga yabulawo ku Lwokubiri lwa ssabbiiti ewedde.
Kitaawe w’omwana ono Muyita Isa agombeddwamu obwala Police agiyambeko mu kunoonyereza kubanga ye kennyini kigambibwa nti yaggya mutabani we awaka ng’amuzzaayo ku ssomero e Kawempe ate oluvannyuma omwana n’asangibwa ng’asaliddwako mutwe.