Munnamateeka wa Rtd. Col. Dr. Kizza Besigye, Erias Lukwago avuddeyo nategeeza nti ebintu bya Besigye byeyalese mu wooteri mu Ggwanga lya Kenya yabifunye nti wabula yagenze okutuuka mu kisenge ono mweyali asula nga bambega okuva mu Directorate of Criminal Investigations – DCI eya Kenya bagifuuzizza dda bwatyo nategeeza nti talina bukakafu bwonna nti oba bano tebalina kintu kyebatutte.
Wabula agamba nti aba wooteri bamutegeezezza nti bano mpaawo kintu kyonna kyebazudde mu kisenge kya Besigye.