Ekitongole ekivunaanyizibwa ku mmwanyi mu ggwanga ekya Uganda Coffee Developement Authority kiriko ekikwekweto kyekikoze mu Disitulikiti okuli Mityana, Mubende, Ggomba, Mpigi, Kiboga ne kikwata abasuubuzi, abalimi n’abebyuma eby’emmwanyi abatyoboola omutindo gw’emmwanyi.
Ekikwekweto kino kikulembeddwamu akulira omutindo gw’emmwanyi mu kitundu ekya Western Region Steven Balikulungi ng’ono agambye nti omutindo gw’emmwanyi za Yuganda gubadde gugudde ku katale k’ensi yonna nga kino kiva ku bantu abaanika emmwanyi mu ttaka, abanoga embisi,n’abebyuma ebikuba emmwanyi embisi.
Wabula abamu ku bakwatiddwa nga bano basangiddwa nga balina emmwanyi embisi basabye basonyiyibwe nga bagamba, nti abalimi bebazisuubulako beebabaguza emmwanyi embisi.
Mu bano abakwatiddwa mwemubadde ne nnamukadde ow’emyaka 80 ng’ono asoose kwegaana mmwanyi nga bwezitabadde zize kyokka oluvannyuma n’akkiriza era ne yeetonda.