Ekitongole kya Keddi Foundation kiduukiridde abantu ababundabunda

Ekitongole kya Keddi Foundation kiduukiridde abantu ababundabunda mu nkambi y’e Kyaka II n’ebintu ebikozesebwa mu bulamu obwabulijjo obwenjawulo. Bano babawadde ebintu ebikozesebwa mu kusoma omuli ebitabo, emmere wamu n’ebintu ebirala eri ssomero lya Angles Care School, abantu abawangalira mu Kyaka II Refugee Camp wamu n’abatuuze abalala.
CEO wa Keddi Foundation Dr. Keddi Steven bweyabadde awaayo ebintu ku ssomero lya Angels Care yakubirizza abayizi naddala abava mu nkambi zababundabunda okufaayo ennyo ku misomo gyabwe newankubadde basanga okusoomozebwa okwenjawulo mu lugendo lwabwe olwokusoma.
Essomero lino lirina abaana 1,300 wabula ng’ebitundu 90 ku 100 ku bano bonna babundabunda era ngabayita mu kusoomozebwa kungi.
Bwyabadde ayogerako eri abantu ababundabunda mu nkambi y’e Kyaka II yabategeezezza nti bagumire byonna ebyabatuukako wabula tebaggwamu ssuubi olw’entalo ezabawula nabaabwe nti era Bannayuganda bantu balungi abaaniriza abalala ssaako n’okubeera eggwanga eryemirembe.

Leave a Reply