Bannayganda abatafunanga ndagamuntu, beewandiisa n’abatewandiisanga
mwesuneko, anti ekitongole kya NIRA ekivunaanyizibwa ku kufulumya
endagamuntu kikoze enteekateeka mwekigenda okuyita okulaba nga bazifuna.
Ekitongole kyakuddayo ku magombolola okuwandiika abantu n’okukola ku
kwemulugunya kw’abantu, okwekuusa ku ndagamuntu. Amyuka omwogezi wa NIRA
Michael Muganga agamba nti ekitongole kitandise n’okukolera Gavumenti
omusimbi era ng’omwaka oguwedde kyakoze buwumbi.