Minisita wa Ethics and Integrity Rev. Fr. Lokodo avuddeyo ku media center nategeeza nga bwafunye obubaka nti mu kivulu kya Nyege Nyege wabeerayo okusinda omukwano mu lujjudde, okuleekaana, n’ebisiyaga bwatyo nategeeza nti bino tebijja kukirizibwa. Agambye nti yayagala okukiyimiriza omwaka oguwedde naye nekibaawo, Minisitule y’ensonga z’ebweru tekimanyiiko nabiki byebakolerayo ekiyinza okuba eky’obulabe eri eby’okwerinda by’eggwanga. Abategesi tebavaayo kujja kutunnyonyola biki ebibeerayo. Nabwekityo nagamba nti ekivulu ky’omwaka guno tekiriiyo.