Ekivulu nkirizza kibeeyo – Hon. Rev. Fr. Lukodo

Hon. Rev. Fr. Simon Lokodo Omubeezi wa Minister of Ethics and Integrity avuddeyo n’ekiwandiiko ku kivulu kya Nyege Nyege kyeyabadde asazizaamu olunaku lw’eggulo;

Bannayuganda banange, olunaku lw’eggulo navuddeyo n’empisa ekiragiro eky’okuyimiriza ekivulu kya Nyege Nyege oluvannyuma lw’abategesi okulemererwa okutuukiriza ebisanyizo ebimu. Wabula oluvannyuma lw’akafubo wakati wa Gavumenti, ebitongole byebyokwerinda wamu n’abategesi b’ekivulu kino, tutuuse kunzikiriziganya ku bintu Gavumenti byeyalabye nti bibulamu wamu n’ebyo ebyabategesi.

Nabwekityo, kankozese omukisa guno okubateegeeza nti ekivulu kikiriziddwa okubaayo wabula nga abategesi balina okufuba okulaba nti bagoberera ebiragiro ebiteekeddwawo kuba bakirizza okubigondera n’okulaba nti bigobererwa.

Nsaba abo bonna abagenda okugenda okwesanyusa okufaayo ennyo okugondera ebiragiro bino omuli okukuuma empisa n’obuwangwa bwa Uganda, okugondera amateeka n’ebiragiro, okukuuma emirembe, obuyonjo n’ebirala nga bali mu kivulu kino. Mwewale okutiisatiisa abantu wamu n’okwewala emizze egityoboola ekitiibwa kya Uganda.

Mwebale Nnyo,

Hon. Rev. Fr. Simon Lokodo (MP)

State Minister for Ethics and Integrity.

Leave a Reply