Ekiwandiiko ekitongole ku muliro e Kasubi

Bulange Mengo
5 Ssebaaseka 2020
Mu ttuntu ya leero emu ku nnyumba z’Abalongo essatu ezisangibwa mu Masiro e Kasubi ekutte omuliro kyokka abakozi n’abasula mu Masiro nga beeyambisa ebyuma ebizikiza omuliro bakoze kinene okuzikiza omuliro n’okulaba nti omuliro guno tegwokya Balongo. Era Abalongo tebatuusiddwako bulabe bwonna. Ekitongole kya Poliisi ekizikiza omuliro nakyo kituuse mangu ddala era ne kiyamba nnyo mu kuzikiza omuliro era twebaza Poliisi ya Uganda olw’omulimo guno.
Ennyumba y’Abalongo eyidde yeesudde ebbanga ddene ddala okuva ewali Muzibu-Azaala-Mpanga ba Ssekabaka ba Buganda abana mwebaaterekebwa era ennyumba eno tetuukiddwako bulabe bwonna. Omulimo gw’okuzzaawo ennyumba eno tegukoseddwa mu ngeri yonna. Abamawulire bakiriziddwa okulaba Amasiro nga bwegali mu kiseera kino.
Poliisi ya Uganda etandise okunoonyereza ku kiki ekituufu ekiviiriddeko Ennyumba y’Abalongo okukwata omuliro era tujja bategeeza ebinaava mu kunoonyereza kuno.
Ssaabasajja Kabaka Awangaale
Owek Noah Kiyimba
Minisita w’Amawulire, Abagenyi era Omwogezi W’Obwakabaka.

Leave a Reply